Isaiah 21

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

1 aObunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
eririraanye ensi etiisa.

2 bNfunye okwolesebwa okw’entiisa:
alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

3 cOmubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
bye ndaba bimazeemu amaanyi.
4Omutima gwange gutya,
Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
kanfukidde ekikankano.

5 dBateekateeka olujjuliro,
bayalirira ebiwempe,
ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
musiige engabo amafuta.
6Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi
akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
7 eBw’alaba amagaali
n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
era yeegendereze.”
8 fAwo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
9 gLaba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

10 hAbantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi obukwata ku Edomu

11 iObunnabbi obukwata ku Duuma:

Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
“Omukuumi, bunaakya ddi?
Omukuumi, bunaakya ddi?”
12Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
“Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
okomewo nate.”

Obunnabbi obukwata ku Buwalabu

13 jObunnabbi obukwata ku Buwalabu:

Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14 kmuleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15 lBadduka ekitala,
badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
badduka n’akabi k’entalo.
16 mBw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17 nKu b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.

Copyright information for LugEEEE